Jeremiah 13:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nnyaabula, obwenzi bwo n'okubebera! Obwa malaaya bwo obugwenyufu! Nalaba ebyenyinyalwa by'okolera ku nsozi ne mu miseetwe. Zikusanze, Yeruzaalemu; Onoolinda kutuusa wa nga toli mulongoofu?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndabye obwenzi bwammwe n’obwamalaaya bwe mukoze. Ndabye ebikolwa byo eby’ekivve ku busozi era ne mu nnimiro. Zikusanze ggwe, ayi Yerusaalemi! Olituusa ddi obutaba mulongoofu?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnalaba emizizo gyo, obwenzi bwo, n'obukaba bwo obuyitiridde obw'okwenda kwo, ku nsozi ez'omu ttale. Zikusanze, ayi Yerusaalemi! Kinatwala bbanga ki ggwe okulongoosebwa?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yabalaba nga mukola eby'ensonyi by'akyawa. Mwagenda eri balubaale mu nsozi ne mu ttale, ne muba ng'abenzi n'abakaba. Zibasanze, mmwe abantu b'omu Yerusaalemu! Mulibeerako ddi abalongoofu?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nalaba emizizo gyo, obwenzi bwo n'okubebera kwo, obukaba obw'okwenda kwo, ku nsozi ez'omu ttale. Zikusanze, ai Yerusaalemi toyagala kulongoosebwa; ebyo birituusa wa okubaawo nate?