Jeremiah 13:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga wayise ebbanga ggwanvu, Omukama n'aŋŋamba nti “Genda ku Furaati oggyeeyo omusipi gwe nakulagira okukwekayo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ennaku nnyingi nga ziyiseewo, ate Mukama nandagira nti, “Genda kaakano ku Fulaati oleete olukoba lwe nakulagira okukwekayo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka ennaku nnyingi nga ziyiseewo Mukama n'aŋŋamba nate nti, “Situka ogende ku mugga Fulaati oggyeyo ekimyu eky'olugoye kye nnakulagira okukweka eyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo olwatuuka, nga wayiseewo ebbanga ddene, Mukama n'aŋŋamba nti: “Situka ogende ku Ewufuraate, oggyeyo ekimyu kye nakulagira okukwekayo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka ennaku nnyingi nga ziyiseewo Mukama n'aŋŋamba nti Golokoka ogende ku Fulaati oggyeyo olukoba lwe nnakulagira okulukisiza eyo.