Jeremiah 13:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne ŋŋenda ku Furaati, ne nsima, ne nzigyayo omusipi mu kifo mwe nali ngukwese. Naye kati omusipi gwali guvunze, nga tegukyalina kye gugasa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne ndyoka ŋŋenda ku mugga Fulaati, ne nsimulayo olukoba ne nduggya mu kifo we nnali ndukwese. Naye laba, olukoba lwali lwonoonese, nga terukyalina kye lugasa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne ŋŋenda ku mugga Fulaati ne nsima nnenziggya ekimyu eky'olugoye mu kifo mwe nnali nkikwese. Kale, laba, ekimyu eky'olugoye nga kyonoonese, nga tekikyaliiko kye kigasa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne ŋŋenda ku Ewufuraate, ne nsima, ne nzigyayo ekimyu, mu kifo mwe nali nkikwese, ne nsanga nga kyonoonese, tekikyaliko kye kigasa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne ŋŋenda ku Fulaati ne nsima ne nziya olukoba mu kifo mwe nnali ndukisirizza: kale, laba, olukoba nga lwonoonese, nga teruliiko kye lugasa.