Jeremiah 14:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba ku bantu bano: “Banyumirwa bulala okuzuŋŋana, tebakoma ku bigere byabwe. Omukama bwe butabaagala. Kaakano agenda kujjukira ensobi zaabwe ababonereze olw'ebibi byabwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ku bantu be nti, “Baagala nnyo okubula, tebaziyiza bigere byabwe. Noolwekyo Mukama tabakkiriza era kaakano wakujjukira obutali butuukirivu bwabwe era ababonereze olw’ebibi byabwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'agamba Mukama ebikwata ku bantu bano, “Baayagalanga okuwaba, bwe batyo tebaziyizanga bigere byabwe; n'olwekyo Mukama kyava alema okubakkiriza; kaakano anajjukira obutali butuukirivu bwabwe, era anaabonereza ebibi byabwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bano, Mukama aboogerako bw'ati nti: “Banyumirwa okunvaako, era tebeefuga. Kyenva sibasanyukira. Nja kujjukira ensobi zaabwe, mbabonereze olw'ebibi byabwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati Mukama bw'agamba abantu bano nti Bwe batyo bwe baayagalanga okuwaba; tebaziyizanga bigere byabwe: Mukama kyava alema okubakkiriza; kaakano anajjukira obutali butuukirivu bwabwe, era anaabonereza ebibi byabwe.