Jeremiah 14:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bwe balisiiba, sigenda kuwulira kuwanjaga kwabwe; ne bwe baliweereza ebitambiro ebyokye n'ebitone eby'obuwunga, sigenda kubisiima, wazira ŋŋenda kubazikiriza n'ekitala n'enjala ne kawumpuli.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Newaakubadde nga basiiba, sijja kuwulira kukaaba kwabwe, era wadde bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo eby’empeke, sijja kubikkiriza. Naye nnaabazikiriza n’ekitala, n’enjala ne kawumpuli.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe banaasiibanga, siiwulirenga kukaaba kwabwe; era bwe banaawangayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebitone, siibakkirizenga: naye ndibazikiriza n'ekitala n'enjala ne kawumpuli.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bwe banaasiiba, sijja kuwuliriza bye basaba. Ne bwe banampa ebitambiro n'ebirabo, sijja kubasanyukira, wabula nja kubazikiriza mu lutalo era mbasse enjala n'endwadde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe banaasiibanga, siiwulirenga kukaaba kwabwe; era bwe banaawangayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebitone, siibakkirizenga: naye ndibazikiriza n'ekitala n'enjala ne kawumpuli.