Jeremiah 14:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nze kwe kuddamu nti: “Yii, Mukama Katonda, abalanzi baabagamba nti: ‘Temuliraba kitala, n'enjala tegenda kubagwira; wabula ndibawa emirembe egy'enkalakkalira mu kifo kino.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ne njogera nti, “Woowe, Mukama Katonda, bannabbi abalala babagamba nti, ‘Tewajja kubaawo lutalo wadde okulumwa enjala. Naye nzija kuleeta mirembe egitakoma mu kifo kino.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne ndyoka njogera nti, “Woowe, Mukama Katonda! laba, bannabbi bagamba abantu nti, ‘Temuliraba kitala so temuliba na njala; naye Mukama alibawa emirembe egy'enkalakkalira mu kifo kino.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne ŋŋamba nti: “Mukama Katonda, kino kitalo! Abalanzi bategeeza abantu nti tebaliba na lutalo wadde enjala, kubanga wabakakasa kubawa mirembe mu nsi eno.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne ndyoka njogera nti Woowe, Mukama Katonda! laba, bannabbi babagamba nti Temuliraba kitala so temuliba na njala; naye ndibawa emirembe egy'enkalakkalira mu kifo kino.