Jeremiah 14:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'olw'ekyo Omukama kino ky'agamba ku balanzi abo abalanga mu linnya lyange: Sibatumanga, ate ne bagenda nga bagamba nti: ‘Tewagenda kubeera kitala na njala mu nsi muno.’ Abalanzi bennyini abo balifa ekitala n'enjala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo, bw’atyo bw’ayogera Mukama, ebikwata ku bannabbi abategeeza ebyobunnabbi mu linnya lyange wadde nga sibatumanga, era abagamba nti, ‘Ekitala n’enjala tebijja kujja mu nsi eno.’ Bannabbi abo bennyini bajja kuzikirizibwa ekitala n’enjala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“N'olwekyo bw'ati bw'ayogera Mukama ebikwatagana ne bannabbi aboogerera mu linnya lyange so nga saabatuma, naye ne boogera nti, ‘Ekitala n'enjala tebiriba mu nsi eno,’ Ekitala n'enjala bye birizikiriza bannabbi abo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze Mukama, nkutegeeza kye ŋŋenda okukola abalanzi abo be situmanga, naye ne balagula nga bajuliza erinnya lyange, ne bagamba nti olutalo n'enjala tebiriba mu nsi eno. Ndibattira mu lutalo, era ndibassa enjala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama kyava ayogera bw'ati ebya bannabbi abalagulira mu linnya lyange so saabatuma, naye ne boogera nti Ekitala n'enjala tebiriba mu nsi eno: nti Ekitala n'enjala bye birizikiza bannabbi abo.