Jeremiah 14:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate abantu abo be babuulira nga balanga batyo, balikasukibwa ebweru mu nguudo za Yeruzaalemu olw'enjala n'ekitala; tewaliba muntu abaziika: bo, bakyala baabwe, batabani baabwe, newandibadde bawala baabwe, ŋŋenda kubabunduggulako obujeemu bwabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abantu be bategeezezza obunnabbi balifa enjala n’ekitala ne bakasukibwa mu nguudo babulweko abaziika, bo ne bakazi baabwe, ne batabani baabwe, n’abawala. Kubanga ndibayiwako obusungu obubasaanira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abantu be bategeeza balisuulibwa mu nguudo ez'e Yerusaalemi olw'enjala n'ekitala; so tebaliba na balibaziika, bo ne bakazi baabwe, ne batabani baabwe, ne bawala baabwe. Kubanga ndifuka obubi bwabwe ku bo bennyini.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abantu be balagula, balittibwa mu ngeri ye emu. Emirambo gyabwe, wamu n'egya bakazi baabwe, n'egya batabani baabwe era n'egya bawala baabwe, girigwa mu nguudo z'omu Yerusaalemu, ne wataba agiziika, bwe ntyo mbasasuze olw'ebibi byabwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abantu be balagula balisuulibwa mu nguudo ez'e Yerusaslemi olw'enjala n'ekitala; so tebaliba na balibaziika, bo ne bakazi baabwe newakubadde batabani baabwe newakubadde bawala baabwe: kubanga ndifuka ku bo obubi bwabwe.