Jeremiah 14:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Awo nno bagambe ekigambo kino nti: ‘Amaaso gange ka gakulukute amaziga emisana n'ekiro awatali kusalawo, kubanga embeerera muwala w'abantu bange, akubiddwa nnyo, n'assibwako obuvune obw'amaanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kino ky’oba obagamba nti, “ ‘Leka amaaso gange gakulukute amaziga emisana n’ekiro awatali kukoma; kubanga muwala wange embeerera, abantu bange, bafunye ekiwundu ekinene, ekintu eky’amaanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“ Era olibagamba ekigambo kino nti, ‘Muleke amaaso gange gakulukute amaziga emisana n'ekiro, era galeme okulekayo; kubanga omuwala w'abantu bange atamanyi musajja afumitiddwa ekiwundu ekinene, n'olukuba olw'obulumi.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'andagira ntegeeze abantu obuyinike bwabwe, mbagambe nti: “Amaaso gange gakulukuta amaziga emisana n'ekiro, nneme kulekayo kukaaba maziga, kubanga abantu bange bafumitiddwa ebiwundu binene, era balumiziddwa nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era olibagamba ekigambo kino nti Amaaso gange gakulukute amaziga emisana n'ekiro so galeme okulekayo; kubanga omuwala w'abantu bange atamanyi musajja awaguddwamu ekituli kinene, ekiwundu kibi nnyo nnyini.