Jeremiah 14:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe ŋŋenda mu kyalo, nsanga abattiddwa ekitala; bwe nnyingira mu kibuga, nsanga ndwadde olw'enjala. Abalanzi ne bakabona babungeeta mu nsi, tebakyategeera.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe ŋŋenda mu byalo ndaba abafumitiddwa n’ekitala! Bwe ŋŋenda mu kibuga ndaba okutaagulwataagulwa okw’enjala. Naye nnabbi ne kabona beeyongera okukola emirimu gyabwe mu ggwanga kyokka nga bye boogera bya bulimba.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe nnaafuluma mu ttale, kale, laba, abattiddwa n'ekitala! era bwe nnaayingira mu kibuga, kale, laba, abo abalwadde olw'enjala! kubanga nnabbi era ne kabona batambulatambula mu nsi, nga bategeeza abantu nabo bye batamanyi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe ntambulako mu ttale, nsangayo emirambo gy'abo abattiddwa mu lutalo. Bwe nnyingira mu kibuga, ndaba abafa enjala. Abalanzi ne bakabona batwalibwa mu nsi, gye batamanyi n'akatono.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe nnaafuluma mu ttale, kale, laba, abattiddwa n'ekitala era bwe nnaayingira mu kibuga, kale, laba, abo abalwadde olw'enjala kubanga nnabbi era ne kabona batambulira mu nsi so tebalina kumanya.