Jeremiah 14:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yuda omuviiriddemu ddala? Siyoni akutamidde ddala? Lwaki otukubye bw'otyo ne wataba na ssuubi lya kuwona? Twasuubira mirembe, naye tewali kalungi kajja; twasuubira obudde obw'okuwonyezebwa, laba ntiisa ye yajja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yuda ogigaanidde ddala? Sayuuni ogyetamiriddwa ddala? Otufumitidde ddala awatali kuwonyezebwa? Twasuubira emirembe naye tewali kalungi ke tufunye, ekiseera eky’okuwonyezebwa naye laba tufunye bulabe bwereere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ogaanidde ddala Yuda? Emmeeme yo etamiddwa Sayuuni? Lwaki otufumitidde ddala, so nga tewali ddagala lya kutuwonya? Twasuubiranga emirembe, naye ne wataba birungi bye twafuna; n'ebiro eby'okuwonyezebwamu, kale, laba, twajjirwa ekikangabwa!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, ab'omu Buyudaaya obasuulidde ddala? Ab'omu Yerusaalemu obakyaye? Otufumitidde ki bw'otyo, ne tutasobola kuwonyezebwa? Twasuubira emirembe, ne wataba kalungi ke tufuna. Twasuubira okuwonyezebwa, ne tujjirwa kikangabwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ogaanidde ddala Yuda? emmeeme yo etamiddwa Sayuuni? otufumitidde ki, so tewali ddagala lya kutuwonya? Twasuubiranga emirembe, naye ne wataba birungi ebyajjanga; n'ebiro eby'okuwonyezebwamu, kale, laba, okukeŋŋentererwa.