Jeremiah 14:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Yuda ali mu kukungubaga; ebibuga bye biyongobedde; balaajana olw'ensi; emiranga gyambuse mu Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Yuda ekungubaga n’ebibuga byayo bifaafaaganye, bakaabira ensi, era omulanga gusimbuse mu Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Yuda akungubaga, n'enzigi ze ziyongobera; abantu be banyolwa nga batudde ku ttaka, n'okukaaba kwa Yerusaalemi kulinnye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Obuyudaaya buli mu kukungubaga: ebibuga byabwo biwuubadde. Abantu baabwo batuula ku ttaka nga banakuwadde. Yerusaalemu kitema miranga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yuda awuubaala, n'enzigi zaayo ziyongobera, batuula ku ttaka nga bambadde ebiddugala; n'okukaaba kwa Yerusaalemi kulinnye.