Jeremiah 14:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'obulungi bw'erinnya lyo tobasuula, toweebuula linnya lyo ery'ekitiibwa. Jjukira era tomenyawo ndagaano gye wakola naffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’erinnya lyo totugoba, tovumaganyisa ntebe yo ey’obwakabaka ey’ekitiibwa. Jjukira endagaano gye wakola naffe, togimenya, gituukirize.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Totusuula olw'erinnya lyo; tonyoomesa kitiibwa kya nnamulondo yo; jjukira era tomenya ndagaano gye walagaana naffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jjukira bye wasuubiza oleme kutusuula. Toswaza Yerusaalemu, ekifo eky'entebe yo eyeekitiibwa. Tomenya ndagaano gye wakola naffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Totutamwa olw'erinnya lyo; tovumisa ntebe ya kitiibwa kyo: jjukira, tomenya ndagaano gye walagaana naffe.