Jeremiah 14:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakungu batuma abaweereza baabwe emugga; batuuka ku nzizi naye tebasangamu mazzi; bakomawo ng'ensuwa nkalu, basobeddwa, baterebuse ne beebikka emitwe gyabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakungu batuma abaddu baabwe okuleeta amazzi; bagenda mu ttanka ez’omu ttaka nga temuli kantu, bakomawo n’ebintu ebikalu; ensonyi nga zibakutte n’essuubi nga libaweddemu; babikka amaaso gaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abakungu baabwe batuma abakozi baabwe emugga; batuuka ku nzizi, ne batasangamu mazzi; baddayo ensuwa zaabwe nga nkalu; ensonyi zibakwata, baswala, babikka ku mitwe gyabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakungu batuma abaweereza baabwe emugga, ne batuuka ku nzizi ne baddayo eka ng'ensuwa nkalu. Ensonyi zibakwata ne beebikka ku maaso nga baswadde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abakungu baabwe batuma abaana baabwe abato emugga: batuuka ku binnya, ne batasangamu mazzi; baddayo ensuwa zaabwe nga njereere: ensonyi zibakwata, baswala, babikka ku mitwe gyabwe.