Jeremiah 14:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Newandibadde ebibi byaffe bitulumiriza, baako ky'okola, ayi Mukama, olw'ekitiibwa ky'erinnya lyo. Kituufu, twakujeemera nnyo, twasobya gy'oli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wadde obutali butuukirivu bwaffe butulumiriza, Ayi Mukama, baako ky’okola olw’erinnya lyo. Kubanga tuzze ennyuma emirundi mingi, tukwonoonye nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Newakubadde obutali butuukirivu bwaffe nga butulumiriza, baako ky'okola, ayi Mukama olw'erinnya lyo, kubanga okudda kwaffe emabega kungi; era twakwonoona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wadde ebibi byaffe bitulumiriza, tuyambe, ayi Mukama, nga bwe watusuubiza. Twakuvaako emirundi mingi, twakola ebibi ebikunyiiza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obutali butuukirivu bwaffe newakubadde nga butulumiriza, kola omulimu olw'erinnya lyo, ai Mukama: kubanga okudda kwaffe ennyuma kungi; twakwonoona.