Jeremiah 14:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Lwaki ofaanana ng'omuntu atangaaliridde, ng'omutabaazi atayinza kutaasa? Sso nno oli mu makkati gaffe, ayi Mukama, tuyitibwa n'erinnya lyo, leka kutwabulira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lwaki oli ng’omuntu gwe baguddeko obugwi, ng’omulwanyi ataliimu maanyi ganunula? Ggwe, Ayi Mukama Katonda, oli wakati mu ffe, era tuyitibwa linnya lyo. Totuleka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Wandibeeredde ki ng'omusajja asobeddwa, ng'omusajja ow'amaanyi atayinza kulokola? So nga ggwe, ayi Mukama, oli wakati muffe, naffe tutuumiddwa erinnya lyo; totuleka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Lwaki oli ng'omuntu asamaaliridde, ng'omuzira atayinza kutaasa? Naye, ayi Mukama, oli wakati mu ffe. Tuli babo, totwabulira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Wandibeeredde ki ng'omuntu asamaaliridde, ng'omusajja ow'amaanyi atayinza kulokola? era naye ggwe, ai Mukama, oli wakati mu ffe, naffe tutuumiddwa erinnya lyo; totuleka.