Jeremiah 15:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'aŋŋamba nti: “Musa ne Samweli ne bwe bandiyimiridde mu maaso gange, sandikwatiddwa kisa bantu bano. Bagobe mu maaso gange; bagende.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Musa ne Samwiri ne bwe bandiyimiridde okunneegayirira, sandisonyiye bantu bano. Bagobe okuva mu maaso gange, banviire.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mukama n'alyoka aŋŋamba nti, “Newakubadde nga Musa ne Samwiri bandiyimiridde mu maaso gange, era emmeeme yange teyandiyinzizza kutunuulira bantu bano. Bagobe bave mu maaso gange, era obaleke bagende!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Musa ne Samweli ne bwe bandiyimiridde mu maaso gange ne beegayirira, era sandikwatiddwa bantu bano kisa. Bagobe mu maaso gange bagende.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Mukama n'alyoka aŋŋamba nti Musa ne Samwiri newakubadde nga bayimiridde mu maaso gange, era emmeeme yange teyandiyinzizza kutunuulira bantu bano: bagobe mu maaso gange, baveewo.