Jeremiah 15:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zinsanze! Nnyabo, wanzaalira ki, nze omuntu ali mu kuwakana, mu mpaka, n'eggwanga lyonna? Siwolanga yadde okwewola; sso bonna banvumirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zinsanze, mmange lwaki wanzaala omuntu eggwanga lyonna gwe lirwanyisa ne likuluusanya? Siwolanga wadde okweyazika, kyokka buli muntu ankolimira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zinsanze, nnyabo, kubanga wanzaala nga ndi musajja wa nnyombo era ow'empaka eri ensi zonna! Siwolanga lwa magoba, so n'abantu tebampolanga lwa magoba; naye buli muntu ku bo ankolimira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nga zinsanze nze! Mmange yanzaalira ki? Ndi wa kuyomba na kuwakana na buli omu ku nsi? Siwolanga nsimbi era tewali yali ampoze, naye buli muntu ankolimira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zinsanze, nnyabo, kubanga wanzaala nga ndi musajja wa nnyombo era ow'empaka eri ensi zonna siwolanga lwa magoba, so n'abantu tebampolanga lwa magoba; naye buli muntu ku bo ankolimira,