Jeremiah 15:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kibeere kityo, ayi Mukama, singa saakuweereza bulungi, singa saakwegayirira ku lw'abalabe mu biseera eby'ebizibu n'ennaku.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama agamba nti, “Ddala ndikununula olw’ekigendererwa ekirungi, ddala ndireetera abalabe bo okukwegayirira, mu biseera eby’okuluma obujiji, mu biseera eby’akabi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale kituukirire ayi Mukama, bwemba nga sakwegayirira olw'obulungi bwabwe, era bwemba ssaasabira mulabe wange mu biro eby'okulabiramu ennaku ne mu biro eby'okubonyaabonyezebwamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale ayi Mukama, ebikolimo byabwe bituukirire bwe mba nga saakuweereza bulungi, era bwe mba nga saasabira mulabe wange ng'ali mu buzibu ne mu buyinike.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama yayogera nti Mazima ndikuwa amaanyi olw'obulungi; mazima ndikwegayiriza omulabe mu biro eby'okulabiramu ennaku ne mu biro eby'okubonyaabonyezebwamu.