Jeremiah 15:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ebintu byo n'obugagga nzija kubiwaayo binyagibwe ku bwereere olw'ebibi byo byonna wonna mu nsi yo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ndiwaayo eby’obugagga byo n’ebintu byo eby’omuwendo ennyo binyagibwe awatali kusasulwa, olw’ebibi byo byonna ebikoleddwa mu ggwanga lyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ebintu n'obugagga eby'abantu bange ndibiwaayo okuba omunyago awatali muwendo, olw'ebibi byo byonna, bye bakoze mu ggwanga lyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'aŋŋamba nti: “Ebintu n'obugagga eby'abantu bange, nja kubiwaayo binyagibwe, olw'ebibi bye bakoze mu ggwanga lyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebintu byo n'obugagga bwo ndibiwaayo okuba omunyago awatali muwendo, olw'ebibi byo byonna, mu nsalo zo zonna.