Jeremiah 15:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebigambo byo bwe byajja, nabirya; ekigambo kyo kyali ssanyu na kujaganya mu mutima gwange, kubanga nayitibwa erinnya lyo, Mukama Katonda w'Amagye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebigambo byo bwe byanzijira, ne mbirya, byali ssanyu era okujaguza kw’omutima gwange. Kubanga mpitibwa linnya lyo, Ayi Mukama Katonda ow’Eggye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebigambo byo nnabizuula, ne mbirya, era ebigambo byo byali bya ssanyu gye ndi, n'omutima gwange ne gujjula okusanyuka; kubanga ntuumiddwa erinnya lyo, ayi Mukama Katonda ow'eggye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wayogera nange, ne mpuliriza buli kigambo. Ndi wuwo, ayi Mukama, Katonda Nnannyinimagye. Ebigambo byo kyebyava bireetera omutima gwange essanyu n'okujaganya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebigambo byo byalabika ne mbirya; n'ebigambo byo byali gye ndi ssanyu n'okusanyuka kw'omutima gwange: kubanga ntuumiddwa erinnya lyo, ai Mukama Katonda ow'eggye.