Jeremiah 15:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Situulanga na bakozi ba binyumu, sibinukanga nabo; wabula natuulanga nzekka kubanga omukono gwo gwandiko, kubanga wali onzijuzizza okwennyamira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Situulangako mu kuŋŋaaniro ly’abo ab’ebinyumu era sibeerangako mu biduula nabo. Natuulanga nzekka kubanga naliko omukono gwo, era wandeetera okwekyawa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Saatuula mu kkuŋŋaaniro ly'abo ab'ebinyumu, so ssaasanyuka, n'atuula nzeka kubanga omukono gwali ku nze, kubanga onzijuzizza obusungu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Saatuula na bantu balala mu kusanyuka ne mu binyumu. Naye nga bwe wandagira, natuula nzekka nga nzijudde obusungu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Saatuula mu kkuŋŋaaniro ly'abo ab'ebinyumu, so saasanyuka: natuula nzekka olw'omukono gwo; kubanga onjijuzizza okunyiiga.