Jeremiah 15:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Lwaki obulumi bwange tebuwona, n'ekiwundu kyange tekiwona, tekivumulikika? Onfuukidde ng'engezi erimbalimba, ng'amazzi agatasimba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lwaki okulumwa kwange tekukoma era n’ekiwundu kyange ne kitawona? Onomberera ng’akagga akalimbalimba ng’ensulo ekalira?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obulumi bwange bubeerera ki obw'olubeerera, n'ekiwundu kyange kibeerera ki ekitawonyezeka, kiganira ki okuwonyezebwa? Oliba gye ndi ng'akagga akalimba ng'amazzi agaggwaawo?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Lwaki mba mu bulumi obw'olubeerera? Lwaki ekiwundu kyange tekiwona? Lwaki kisamba eddagala? Onfuukidde kagga akateesigwa akaggwaamu amazzi mu kyeya?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obulumi bwange bubeerera ki obw'olubeerera, n'ekiwundu kyange kibeerera ki ekitawonyezeka, ekigaana okulogebwa? kazzi oliba gye ndi ng'akagga akalimba, ng'amazzi agaggwaawo?