Jeremiah 15:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'ekyo Omukama kino ky'agamba: “Bw'olyeddamu, nange ndikuzzaawo; olwo olimpeereza. Bw'olyogera ebirimu ensa, sso si ebyo omutali, olibeera kamwa kange; leka abantu bano badde gy'oli, sso si ggwe okudda gye bali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo kino Mukama ky’agamba nti, “Bwe muneenenya, ndibakomyawo musobole okumpeereza; bwe mulyogera ebigambo ebisaana so si ebitasaanidde, mulibeera boogezi bange. Leka abantu bano be baba bajja gy’oli, so si ggwe okugenda gye bali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama kyava ayogera bw'ati nti, “Bw'olikomawo, kale ndikuzza olyoke oyimirire mu maaso gange; era bw'olyawula eby'omuwendo omungi okubiggya mu ebyo ebitagasa, oliba ng'akamwa kange. Balidda gy'oli naye ggwe toddanga gyebali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Bw'olidda gye ndi, ndikuzza ku mulimu n'oddamu okumpeerezanga. Bw'onoova ku kwogera ebitagasa, n'oyogera eby'omugaso, oliddamu okwogera ku lwange. Abantu balidda gy'oli n'oteetaaga kugenda gye bali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama kyava ayogera bw'ati nti Bw'olikomawo, kale ndikuzza olyoke oyimirire mu maaso gange; era bw'olyawula eby'omuwendo omungi okubiggya mu ebyo ebitagasa, oliba ng'akamwa kange: balidda gy'oli naye ggwe toddanga gye bali.