Jeremiah 15:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate singa bakubuuza nti: ‘Tudde wa?’ baddemu nti: ‘Omukama kino ky'agamba: “ ‘Ab'okufa olumbe, badde eri olumbe; ab'okufa ekitala, badde eri ekitala; ab'okufa enjala, badde eri enjala; ab'okutwalibwa mu busibe, badde eri obusibe.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era bwe bakubuuza nti, ‘Tunaagenda wa?’ “Bagambe nti, ‘Kino Mukama kyagamba nti, Ab’okuttibwa bagenda kuttibwa, n’ab’ekitala bafe ekitala, n’ab’enjala bafe enjala, n’ab’okuwambibwa bawambibwe.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olulituuka bwe balikubuuza nti, ‘Tunagenda wa?’ Kale n'obagamba nti, ‘Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, Ab'okuttibwa bagende eri okuttibwa; n'ab'ekitala eri ekitala; n'ab'enjala eri enjala; n'ab'okusibibwa eri okusibibwa.’”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe bakubuuza nti: ‘Tugende, tulage wa?’ Bategeeze nti Mukama agambye nti: ‘Ab'okufa kawumpuli, bagende eri kawumpuli. Ab'okufiira mu lutalo, bagende eri olutalo. Ab'okufa enjala, bagende eri enjala. Ab'okutwalibwa mu busibe bagende mu busibe.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka bwe balikugamba nti Tunadda wa nga tuvuddewo? kale n'obagamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Ab'okuttibwa bagende eri okuttibwa; n'ab'ekitala eri ekitala; n'ab'enjala eri enjala; n'ab'okusibibwa eri okusibibwa.