Jeremiah 15:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndikufuula bbugwe omugumu ow'ekikomo eri abantu bano; balikulwanyisa naye tebalikusobola, kubanga nze ndi naawe okukuwonya n'okukutaasa, Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndikufuula ekisenge eri abantu bano, ekisenge ekinywezebbwa eky’ekikomo. Balikulwanyisa naye tebalikuwangula, kubanga ndi naawe, okukununula, n’okukulokola,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndikufuula eri abantu bano bbugwe ow'ekikomo aliko enkomera; era balirwana naawe, naye tebalikuwangula, kubanga nze ndi wamu naawe okukulokola n'okukuwonya, bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndikufuula ekisenge eky'ekikomo gye bali. Balikulwanyisa, naye tebalikuwangula. Ndi wamu naawe okukukuuma n'okukuwonya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndikufuula eri abantu bano bbugwe ow'ekikomo aliko enkomera; era balirwana naawe, naye tebalikuwangula: kubanga nze ndi wamu naawe okukulokola n'okukuwonya, bw'ayogera Mukama.