Jeremiah 15:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ndibategekerawo engeri nnya ez'okubazikiriza, Omukama y'agamba: ekitala okubatta, embwa okubawalaawala, n'ebinyonyi eby'omu bbanga n'ebisolo eby'ettale okubakavvula n'okubazikiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ndiweereza engeri nnya ez’okubazikiriza,” bw’ayogera Mukama. “Ekitala kya kufumita, embwa zikulule, ebinyonyi eby’omu bbanga n’ensolo ez’omu nsiko zirye n’okuzikiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era ndibalondera engeri nnya ez'okuzikiriza, bw'ayogera Mukama, ekitala okutta, embwa okutaagula, ennyonyi ez'omu bbanga, n'ensolo ez'omu nsi, okulya n'okuzikiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze Mukama mbateereddewo engeri nnya ez'okubazikiriza: okufiira mu lutalo n'okutaagulwa embwa, okubojjogolwa ebinyonyi, n'okukavvulwa ebisolo eby'omu ttale.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndibateekerawo engeri nnya, bw'ayogera Mukama: ekitala okutta, n'embwa okutaagula, n'ennyonyi ez'omu bbanga, n'ensolo ez'omu nsi, okulya n'okuzikiriza.