Jeremiah 15:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndibafuula ekyesisiwaza eri buli bwakabaka mu nsi, olw'okubeera Manasse, mutabani wa Kezekiya kabaka wa Yuda, bye yakola mu Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ndibawaayo babeetamwe eruuyi n’eruuyi mu bwakabaka bwonna obw’omu nsi olw’ekyo Manase mutabani wa Keezeekiya kabaka wa Yuda kye yakola mu Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndibafuula entiisa eri obwakabaka bwonna obw'ensi, olw'ekyo Manase mutabani wa Keezeekiya kabaka wa Yuda kye yakola mu Yerusaalemi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndibafuula ekyekango eri abantu bonna ku nsi, olw'ebyo Manasse mutabani wa Heezeekiya bye yakola mu Yerusaalemu, nga ye kabaka wa Buyudaaya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndibawaayo okuyuuguumizibwa eruuyi n'eruuyi mu bwakabaka bwonna obw'ensi, olwa Manase mutabani wa Keezeekiya kabaka wa Yuda olw'ekyo kye yakolera mu Yerusaalemi.