Jeremiah 15:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kale alikusaasira ye ani, ggwe Yeruzaalemu? Oba ani alikukungubagira? Ani alikyama okubuuza bw'oli?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ani alikukwatirwa ekisa ggwe Yerusaalemi? Oba ani alikukungubagira? Oba ani alikyama okubuuza ebikufaako?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kubanga ani alikusaasira, ggwe Yerusaalemi? Oba ani alikukungubagira? Oba ani alikyuka n'abuuza ebifa gy'oli?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Ggwe Yerusaalemu, alikusaasira ani? Wadde alikyama ani abuuze ggwe bw'oli?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ani alikusaasira, ggwe Yerusaalemi? oba ani alikukungubagira? oba ani alikyama okubuuza ebifa gy'oli?