Jeremiah 15:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwansuula,” Omukama y'agamba, “mwakuba akaddannyuma, kyenvudde mbagololerako omukono gwange ne mbazikiriza; okusaasira kunkooyezza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mwanneegaana,” bw’ayogera Mukama. “Temutya kudda nnyuma. Noolwekyo mbagololeddeko omukono gwange ne mbazikiriza. Sikyasobola kukukwatirwa kisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oŋŋaanyi, bw'ayogera Mukama, ozze emabega, kyenvudde nkugololerako omukono gwange ne nkuzikiriza; nkooye okukusaasira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ggwe waŋŋaana n'onkuba amabega. Kyenvudde nkugololera omukono ne nkuzikiriza. Nkooye okusaasira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oŋŋaanyi, bw'ayogera Mukama, ozze ennyuma; kyenvudde nkugololerako omukono gwange ne nkuzikiriza; nkooye okwejjusa.