Jeremiah 15:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kubawewera ku miryango gy'ensi n'ekkabi eriwewa; mbamazeeko abaabwe, nzikirizza abantu bange, kubanga bagaanyi okukyusa engeri zaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ndibakuŋŋunta n’ekitiiyo eky’amannyo mu miryango gy’ebibuga eby’omu nsi. Ndizikiriza abantu bange ne mbamalawo kubanga tebaaleka makubo gaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mbaweye n'ekiwewa eky'ekyuma mu miryango egy'ensi; mbafudde abakungubaga, nzikirizza abantu bange; Tebakomawo okuva mu makubo gaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu buli kibuga mu nsi eno mmwe abantu bange nabawewa ng'ebisusunku. Natta abaana bammwe ne mbazikiriza mmwe, kubanga mwalemera mu mpisa zammwe embi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'abawujjira n'ekiwujjo mu miryango egy'ensi: mbaggyeeko abaana, nzikirizza abantu bange; tebaddanga okuva mu makubo gaabwe.