Jeremiah 15:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyazaala abaana omusanvu ayongobedde, azirika; enjuba ye egudde nga bukyali misana; ensonyi zimutta, aswadde. N'abasigaddewo ku bo nzija kubatta n'ekitala mu maaso g'abalabe baabwe,” Omukama y'ayogera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eyazaala omusanvu ayongobedde, awejjawejja. Enjuba ye egudde nga bukyali misana, amaanyi gamuwedde, ensonyi zimukutte, awuunze, awuubadde. N’abo abawonyeewo ndi wa kubasogga ekitala, mu maaso ga balabe baabwe,” bwayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eyazaala abaana omusanvu ayongobera era azirise; obulamu bumuggwaamu; enjuba ye egudde nga bukyali bwa misana; akwatiddwa ensonyi, aswadde; n'abalifikkawo ku bo ndibagabula eri ekitala mu maaso g'abalabe baabwe, bw'ayogera Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eyazaala abaana omusanvu azirise, obulamu bumuggwaamu! Obudde bwe obw'emisana bumufuukidde bwa kiro. Akwatiddwa ensonyi, aswadde! Ndireka abalabe bammwe ne batta nammwe abakyali abalamu. Nze Mukama, Nze njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eyazaala omusanvu ayongobera; atadde obulamu; enjuba ye egudde nga bukyali bwa misana; akwatiddwa ensonyi, aswadde: n'abalifikkawo ku bo ndibagabula eri ekitala mu maaso g'abalabe baabwe, bw'ayogera Mukama.