Jeremiah 16:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bw'oliba omaze okubuulira abantu bano ebigambo ebyo byonna, ne bakubuuza nti: ‘Lwaki Omukama atulangirira akabi akanene ako konna? Musango ki gwe twazza? Kibi ki kye twasobya Omukama Katonda waffe?’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’oligamba abantu bino byonna ne bakubuuza nti, ‘Lwaki Mukama atutuusizaako akabi kano konna? Kibi ki kye tukoze? Musango ki gwe tuzizza eri Mukama Katonda waffe?’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Awo olulituuka bw'olitegeeza abantu bano ebigambo bino byonna, bo ne bakugamba nti, Kiki eky'ogezezza Mukama obubi buno bwonna obunene ku ffe? Oba atulanga ki? Oba kyonoono ki kye twonoonye Mukama Katonda waffe?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bw'onootegeeza abantu ebigambo bino byonna, bajja kukubuuza nti: ‘Lwaki Mukama alangiridde nti akabi akanene bwe katyo kajja kututuukako? Tuzzizza musango ki, era tukoze kibi ki ekinyiizizza Mukama Katonda waffe?’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka bw'olitegeeza abantu bano ebigambo bino byonna, bo ne bakugamba nti Kiki ekyogezezza Mukama obubi buno bwonna obunene eri ffe? oba atulanga ki? oba kyonoono ki kye twonoonye Mukama Katonda waffe?