Jeremiah 16:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
obagambanga nti: ‘Kubanga bajjajjammwe banjabulira,’ Omukama y'agamba, ‘ne bagoberera balubaale, ne babaweereza, ne babavunnamira okubasinza. Nze bandeka, ne batakwata tteeka lyange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale bagambe nti, ‘Kubanga bakitammwe bandeka ne batakuuma mateeka gange,’ bw’ayogera Mukama, ‘ne bagoberera bakatonda abalala ne babaweereza ne babasinza. Bandeka ne batakuuma mateeka gange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale n'olyoka obagamba nti, ‘Kubanga bajjajjammwe banvaako, bw'ayogera Mukama, ne batambula okugoberera bakatonda abalala ne babaweereza ne babasinza ne bava ku nze, so tebaakwata mateeka gange;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ggwe ojja kubagamba nti Mukama agamba nti: ‘Bajjajjammwe banvaako, ne basinza era ne baweereza balubaale. Nze bansuula, ne batakwata mateeka gange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale n'olyoka obagamba nti Kubanga bajjajjammwe banvaako, bw'ayogera Mukama, ne batambula okugoberera bakatonda abalala ne babaweereza ne babasinza ne bava ku nze, so tebaakwata mateeka gange;