Jeremiah 16:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ate nammwe mukoze na bubi okusinga bajjajjammwe. Kale mulabe, buli omu mu mmwe agoberera obukakanyavu bw'omutima gwe omubi mu kifo ky'okumpulira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era mweyisizza bubi n’okusinga bakitammwe. Laba buli omu nga bwe yeeyisa ng’akakanyaza omutima gwe ogujjudde ebibi mu kifo ky’okuŋŋondera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era kubanga mukoze bubi okusinga bajjajjammwe; kubanga, laba, mutambula buli muntu ng'obukakanyavu bw'omutima gwe omubi bwe buli, nga mugaana okumpuliriza;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mmwe mukoze ebibi okusinga ne bajjajjammwe. Buli omu mu mmwe mukakanyavu wa mutima, era mubi, era tampulira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nammwe mwakola bubi okusinga bajjajjammwe; kubanga, laba, mutambula buli muntu ng'obukakanyavu bw'omutima gwe omubi bwe buli n'okuwulira ne mutampulira