Jeremiah 16:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'olw'ekyo ŋŋenda kubakasuka okuva mu nsi muno, mbasuule mu nsi mmwe ne bajjajjammwe gye mutamanyangako. Eyo gye muliweerereza balubaale emisana n'ekiro, kubanga sijja kubalaga busaasizi.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo ndibaggya mu nsi eno ne mbateeka mu nsi mmwe gye mutamanyi wadde bakitammwe gye bataamanya, era nga muli eyo muliweereza bakatonda abalala emisana n’ekiro, era siribakwatirwa kisa.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kyendiva mbagoba mu nsi eno ne mu genda mu nsi gye mutamanyanga, mmwe newakubadde bajjajjammwe; era munaaweererezanga eyo bakatonda abalala emisana n'ekiro; kubanga siribalaga kisa n'akatono.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyendiva mbagoba mu nsi eno, ne mbasuula mu nsi gye mutamanyi, era ne bajjajjammwe gye bataamanya. Eyo gye munaaweererezanga balubaale ekiro n'emisana, era ndiba sikyabakwatirwa kisa n'akatono.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kyendiva mbagoba mu nsi eno okugenda mu nsi gye mutamanyanga, mmwe newakubadde bajjajjammwe; era munaaweererezanga eyo bakatonda abalala emisana n'ekiro; kubanga siribalaga kisa n'akatono.