Jeremiah 16:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Awo nno ennaku zijja,” Omukama y'agamba, “abantu nga tebakyagamba nti: ‘Mazima Omukama nga mulamu, eyaggya abantu ba Yisirayeli mu nsi y'e Misiri,’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama. “Abantu lwe bataliddayo kwogera nti, ‘Ddala nga Katonda bw’ali omulamu eyaggya Isirayiri mu nsi y’e Misiri,’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kale, laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, nga tekikyayogerwa nti, ‘Nga Mukama bw'ali omulamu eyaggya abaana ba Isiraeri mu nsi y'e Misiri;’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Ekiseera kijja kutuuka, mube nga temukyandayira nga Katonda Nnannyinibulamu, eyaggya abantu ba Yisirayeli mu nsi y'e Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe batakyayogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu eyaggya abaana ba Isiraeri mu nsi y'e Misiri;