Jeremiah 16:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
wazira nti: ‘Mazima Omukama nga mulamu, eyaggya Abayisirayeli mu nsi y'emambuka ne mu nsi zonna gye yali abagobedde.’ Kubanga ndibakomyawo mu nsi yaabwe gye nawa bajjajjaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye baligamba nti, ‘Ddala nga Mukama bw’ali omulamu eyaggya Abayisirayiri mu nsi ey’omu bukiikakkono era n’okuva mu nsi zonna gye yali abasudde.’ Kubanga ndibakomyawo mu nsi gye nawa bajjajjaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye nti, ‘Nga Mukama bw'ali omulamu eyaggya abaana ba Isiraeri mu nsi ey'obukiikakkono ne mu matwale gonna gye yali abagobedde,’ era ndibakomyawo mu nsi y'ewaabwe gye nnawa bajjajjaabwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye banandayiranga nga Katonda Nnannyinibulamu, eyakomyawo abantu ba Yisirayeli okuva mu nsi ey'omu bukiikakkono, ne mu nsi endala zonna gye nabasaasaanyiza, ne mbakomyawo mu nsi gye nawa bajjajjaabwe. Nze Mukama, Nze njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye nti Nga Mukama bw'ali omulamu eyaggya abaana ba Isiraeri mu nsi ey'obukiika obwa kkono ne mu matwale gonna gye yali abagobedde: era ndibakomyawo mu nsi y'ewaabwe gye nnawa bajjajjaabwe.