Jeremiah 16:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndibabonereza emirundi ebiri olw'omusango gwabwe n'ekibi kyabwe, kubanga bajaajaamizza ensi yange n'emirambo gy'ebintu byabwe ebitaliimu, n'obusika bwange ne babujjuza ebyenyinyalwa byabwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndibasasula olw’obutali butuukirivu bwabwe n’olw’ekibi kyabwe emirundi ebiri, kubanga boonoonye ensi yange olw’ebintu ebitaliimu bulamu ne bajjuza omugabo gwange ebifaananyi bya bakatonda baabwe abakolerere, eby’emizizo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndisasula nga nkubisizaamu emirundi ebiri; obutali butuukirivu bwabwe n'ekibi kyabwe; kubanga bayonoona ensi yange n'emirambo egy'ebintu byabwe eby'ebivve, era bajjuzizza obusika bwange emizizo gyabwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ndibasasuza emirundi ebiri olw'omusango gwabwe n'olw'ekibi kyabwe, kubanga boonoonye ensi yange, nga bagijjuza ebifaananyi ebyo bye basinza, ebiri ng'emirambo, era nga bagijjuza balubaale.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era okusooka ndisasula obutali butuukirivu bwabwe n'ekibi kyabwe emirundi ebiri; kubanga bayonoona ensi yange n'emirambo egy'ebintu byabwe eby'ebivve, era bajjuzizza obusika bwange emizizo gyabwe.