Jeremiah 16:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Mukama, amaanyi gange, ekigo kyange, obuddukiro bwange mu budde obw'akabi, ewuwo amawanga gye galijja okuva ku nkingi z'ensi, ne bagamba nti: “Bajjajjaffe bye baasikira temuli, wazira bulimba bwereere, ebitaliimu era ebitaliiko kye byabagasa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Mukama, amaanyi gange era ekigo kyange, ekiddukiro kyange mu biro eby’okulabiramu ennaku, bannaggwanga balijja gy’oli, okuva ku nkomerero z’ensi bagambe nti, “Bakitaffe tebaalina kantu okuggyako bakatonda ab’obulimba, ebifaananyi ebikolerere ebitagasa ebitaabayamba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayi Mukama, amaanyi gange era ekigo kyange, era obuddukiro bwange ku lunaku olw'okulabiramu ennaku, eri ggwe amawanga gonna gye galijja nga bava ku nkomerero z'ensi, era balyogera nti, “Bajjajjaffe baasikira bulimba bwereere, birerya, era bigambo ebitaliiko kye bigasa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama, ggwe onkuuma, era ggwe ompa amaanyi. Ggwe onnyamba mu biseera ebizibu. Ab'omu mawanga mu buli nsonda y'ensi, balijja gy'oli, ne bagamba nti: “Bajjajjaffe baalina bya bulimba bwereere ebitaliimu magoba, era ebitalina mugaso.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai Mukama, amaanyi gange era ekigo kyange, era obuddukiro bwange ku nnaku olw'okulabiramu ennaku, eri gwe amawanga gye galijja nga bava ku nkomerero z'ensi, era balyogera nti Bajjajjaffe baasikira bulimba bwereere, birerya n'ebigambo ebitaliiko kye bigasa.