Jeremiah 16:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno nzija kubamanyisa, ku luno nzija kubamanyisa omukono gwange n'obuyinza bwange, olwo balitegeera ng'erinnya lyange nze Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Noolwekyo ndibayigiriza, ku mulundi guno; ŋŋenda kubalaga amaanyi gange n’obuyinza bwange. Olwo balyoke bamanye nti erinnya lyange nze Mukama.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“N'olwekyo, laba, ndibamanyisa, omulundi guno gwokka, ndibamanyisa obuyinza bwange, era n'amaanyi gange; era balimanya ng'erinnya lyange nze Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Kale abo ndibamanyisiza ddala obuyinza bwange n'amaanyi gange. Balimanya nga Nze Mukama.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, laba, ndibamanyisa, omulundi guno gwokka ndibamanyisa omukono gwange n'amaanyi gange; era balimanya ng'erinnya lyange Yakuwa.