Jeremiah 16:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga Omukama kino ky'agamba ku baana abalenzi n'abawala abazaalirwa mu kifo kino, ne ku bakazi bannyaabwe ne ku basajja bakitaabwe:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga kino Mukama ky’agamba ku balenzi n’abawala abazaalibwa mu nsi eno era ne ku bakazi ba nnyaabwe ne ku basajja ba kitaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bwati bw'ayogera Mukama ebikwata ku baana ab'obulenzi n'ab'obuwala abazaalirwa mu kifo kino ne bannyaabwe ababazaala n'ebya bakitaabwe ababaazaalira mu nsi muno.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nja kukutegeeza ebirituuka ku baana abazaalibwa wano, ne ku bazadde baabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Mukama bw'ayogera bw'ati eby'abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala abazaalirwa mu kifo kino n'ebya bannyaabwe ababazaala n'ebya bakitaabwe ababazaalira mu nsi muno, nti