Jeremiah 16:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
‘Balifa endwadde ezitta; tebalikaabirwa yadde okuziikibwa, wabula baliba ng'obusa obumanse wonna ku ttaka. Balisaanyizibwawo ekitala n'enjala, n'emirambo gyabwe giribeera mmere ya binyonyi eby'omu bbanga n'ey'ebisolo ku nsi.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balifa endwadde ez’akabi. Tebalibakungubagira wadde okuziikibwa naye balibeera ng’ebisaaniko ebisuuliddwa ku ttaka. Balizikirira na kitala era balifa njala; n’emirambo gyabwe girifuuka mmere ya binyonyi eby’omu bbanga n’ebisolo eby’omu nsiko.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balifa endwadde embi ennyo, tebalikungubagirwa so tebaliziikibwa; baliba ng'obusa ku ngulu ku ttaka, era balimalibwawo n'ekitala n'enjala; n'emirambo gyabwe giriba mmere ya nnyonyi ez'omu bbanga era ya nsolo ez'omu nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Balifa endwadde embi ennyo. Tebalikungubagirwa, era tebaliziikibwa. Emirambo gyabwe girigalamira ku ttaka, ne giba ng'entuumu y'obusa. Balittirwa mu lutalo, oba okuttibwa enjala, emirambo gyabwe ne giba emmere y'ebinyonyi, n'ebisolo eby'omu ttale.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Balifa bubi; tebalikungubagirwa so tebaliziikibwa; baliba ng'obusa ku maaso g'ettaka: era balimalibwawo n'ekitala n'enjala n'emirambo gyabwe giriba mmere ya nnyonyi ez'omu bbanga era ya nsolo ez'omu nsi.