Jeremiah 16:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kubanga Omukama kino ky'agamba: Toyingira mu nnyumba mwe bakungubaga, togenda kukaaba yadde okukubagiza, kubanga abantu abo mbaggyeeko emirembe gyange, ekisa kyange n'okusaasira kwange, Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Toyingira mu nnyumba we balya emmere y’olumbe, togenda kukungubaga wadde okubasaasira kubanga nziggyewo omukisa gwange n’okwagala kwange era n’okusaasira kwange ku bantu bano,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“ Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti, ‘Toyingira mu nnyumba mwe bakungubaga, so togenda kukuba biwoobe, so tobakaabira; kubanga nzigye emirembe gyange ku bantu bano,’ bw'ayogera Mukama, era mbaggyeeko ekisa n'okusaasira okulungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Toyingira mu nnyumba mwe bakungubagira. Tokaabira muntu n'omu. Abantu bange mbaggyeeko emirembe gye nali mbawadde, sikyabaagala, era sikyabakwatirwa kisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti Toyingira mu nnyumba mwe bakungubagira, so togenda kukuba biwoobe, so tobakaabira: kubanga nziye emirembe gyange ku bantu bano, bw'ayogera Mukama, mbaggyeeko ekisa n'okusaasira okulungi.