Jeremiah 16:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abanene n'abatene balifiira mu nsi eno, awataliba kuziikibwa yadde abantu okubakungubagira; tebalibeesalira misale na kubamwera nviiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bonna ab’ekitiibwa n’abakopi baakufiira mu nsi eno. Tebajja kuziikibwa wadde okukungubagirwa era tewali ajja kwesala misale wadde okumwa omutwe ku lwabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abakulu era n'abato balifiira mu nsi eno, tebaliziikibwa so n'abantu tebalibakungubagira, era tewaliba n'omu alyeemwa oba alyeesala ekiwalata ku lwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abagagga n'abaavu balifiira mu nsi eno, naye tewaliba abaziika, wadde abakungubagira. Tewaliba yeesala misale, wadde yeemwa nviiri ku lwabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abakulu era n'abato balifiira mu nsi eno: tebaliziikibwa so n'abantu tebalibakungubagira, so tebalyesala so tebalibeemwerera: