Jeremiah 16:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Teriba mmere eweebwa mukungubazi okumukubagiza olw'okufiirwa; teriba amuwa kaakunywa olw'okumukubagiza, ne bw'aliba akungubagira kitaawe oba nnyina.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tewaliba n’omu aliwaayo mmere okuliisa abakungubagira abafiiriddwa, ne bwaliba kitaabwe oba nnyaabwe nga kwe kuli afudde; tewaliba n’omu alibawaayo wadde ekyokunywa okubakubagiza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tewaliba awa mukungubazi mmere okumukubagiza olw'okufiirwa, wadde okumuwa eky'okunywa okumubudabuda, ne bw'aliba ng'afiiriddwa kitaawe oba nnyina.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tewaliba awa munne kyakulya, okumukubagiza ng'afiiriddwa, wadde okumuwa ekyokunywa, ne bw'aliba ng'afiiriddwa kitaawe oba nnyina.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
so abantu tebalibabegera mmere nga babakaabira, okubakubagiza olw'abafu; so abantu tebalibawa kikompe kya kusanyusa okunywa olwa kitaabwe oba olwa nnyaabwe.