Jeremiah 16:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Omukama w'Amagye Katonda wa Yisirayeli, kino ky'agamba: ‘Mu kifo kino, mu budde bwo, ng'olaba bw'oti, ŋŋenda kukomya eddoboozi ly'essanyu n'okujaguza, n'eddoboozi ly'awasa n'ery'omugole.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga kino Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, ky’agamba nti, “Nga weerabirako n’amaaso go, mu nnaku z’obulamu bwo, ndikomya eddoboozi ery’essanyu era n’ery’okwesiima ery’abagole omusajja ne mukyala we mu kifo kino.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti, Laba, ndikomya mu kifo kino mu maaso gammwe nammwe nga mukyali balamu, eddoboozi ery'ebinyumu n'eddoboozi ery'okusanyuka, eddoboozi eryawasa omugole n'eddoboozi ly'omugole.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wulira Nze Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli kye ŋŋamba. Nga nammwe mukyali balamu, era nga mulaba, ŋŋenda kukomya mu kifo kino amaloboozi ag'ekinyumu n'okusanyuka, nsirise amaloboozi g'abawasa abagole, n'ag'abagole.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Laba, ndikomya mu kifo kino mu maaso gammwe nammwe nga mukyali balamu, eddoboozi ery'ebinyumu n'eddoboozi ery'okusanyuka, eddoboozi eryawasa omugole n'eddoboozi ly'omugole.