Jeremiah 17:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ekibi kya Yuda kyayolebwa n'akafumu ka kyuma; kyawandiikibwa n'akalimi ka jjinja ku kipande ky'omutima gwabwe. Ne ku mayembe g'emyaliiro gyabwe
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ekibi kya Yuda kiwandiikiddwa n’ekkalaamu ey’ekyuma n’ejjinja essongovu; kirambiddwa ku mitima gyabwe ne ku mayembe g’ebyoto byabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ekibi kya Yuda kiwandiikiddwa n'ekkalaamu ey'ekyuma, n'akasongezo ka alimansi kyoleddwa ku kipande eky'omutima gwabwe, era ne ku mayembe g'ebyoto byammwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Mmwe abantu b'omu Buyudaaya, ekibi kyammwe kiwandiikiddwa n'ekkalaamu ey'ekyuma, kyoleddwa ku mitima gyammwe n'ejjinja ery'omuwendo essongovu, ne ku nsonda z'alutaari zammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekibi kya Yuda kyawandiikibwa n'ekkalaamu ey'ekyuma ejjinja erya alimasi essongovu: kyayolebwa ku kipande eky'omutima gwabwe, ne ku mayembe g'ebyoto byammwe;