Jeremiah 17:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nze Omukama nze mpenja omutima, neekebejja emmeeme; buli omu mmuwa nga ndabira ku neeyisa ye, nga ngerera ku kigya mu by'akola.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Nze Mukama nkebera omutima, ngezesa emmeeme, okuwa buli muntu ng’amakubo ge bwe gali, ng’ebikolwa bye bwe biri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“ Nze Mukama nkebera omutima, nkema emmeeme, okuwa buli muntu ng'amakubo ge bwe gali, era ng'ebibala bwe biri eby'ebikolwa bye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Nze Mukama mmanya buli muntu ky'alowooza mu mutima gwe. Buli omu mbaako kye mmuwa, okusinziira ku bikolwa bye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nze Mukama nkebera omutima, nkema emmeeme, okuwa buli muntu ng'amakubo ge bwe gali, ng'ebibala bwe biri eby'ebikolwa bye.