Jeremiah 17:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'enkwale emaamira amagi g'etaabiika, n'agaggawala nga tagobye bwenkanya, bw'aba; Birimuggwaako mu makkati g'obulamu bwe, ku nkomerero aliba musiru.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ng’enkwale bw’eyalula amagi geetebiikanga, bw’atyo bw’abeera oyo afuna obugagga mu makubo amakyamu; obulamu bwe nga bwakabeerawo kaseera buseera, bulimuggwaako era oluvannyuma alizuulibwa nga musiru.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ng'enkwale bw'ekuŋŋaanya obwana bw'etezaalanga, bw'atyo bw'abeera oyo afuna obugagga so si lwa mazima; nga akyali mu nnaku ez'okweyagala, obugagga bulimuvaako, ne ku nkomerero ye aliba musirusiru.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu afuna obugagga ng'ayita mu bukumpanya, aba ng'enkwale eyalula amagi g'etaabiika. Obugagga obwo bulimuggwaako nga tannakaddiwa, ne yeeraga bw'ali omusirusiru.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ng'enkwale bw'ekuŋŋaanya obwana bw'etezaalanga, bw'atyo bw'abeera oyo afuna obugagga so si lwa mazima; ennaku ze nga zikyali za kitundu bulimuvaako, ne ku nkomerero ye aliba musirusiru.